Shall you eat breakfast this morning Yes I

Shall you eat breakfast this morning? Yes, I shall. Enkya ya leero onoolya ekyenkya? Enkya ya leero onooly_ekyenkya? Yee, nnaalya.

Today at lunch we shall eat sweet potatoes. Leero ku kyemisana tunaalya lumonde.

What we shall eat at breakfast tomorrow? Enkya ku kyenkya tunaalya ki?

Tomorrow at breakfast, we shall sip porridge. Enkya ku kyenkya tunaawuuta obuugi. Enkya ku kyenkya tunaawuut_obuugi.

Are you going to eat breakfast this morning? Yes, I am. Enkya ya leero ojja kulya ekyenkya? Enkya ya leero ojja kuly_ekyenkya? Yee, nja kulya.

Today at lunch we shall eat rice. Leero ku kyemisana tunaalya omuceere. Lee_o ku kyemisana tunaaly_omucee_e.

What shall we drink at breakfast tomorrow? Enkya ku kyenkya tunaanywa ki?

Tomorrow at breakfast, we shall drink coffee. Enkya ku kyenkya tunaanywa kaawa.

Shall you study Luganda this morning? Yes, I shall. Enkya ya leero onoosoma Oluganda? Enkya ya leero onoosom_Oluganda? Yee, naasoma.

Are you going to study Luganda this morning? Yes, I am. Enkya ya leero ojja kusoma Oluganda? Enkya ya leero ojja kusom_Oluganda? Yee, nja kusoma.
![What are you[. pl] going to read this afternoon? Leero olweggulo mujja kusoma ki? What are you[. pl] going to read this afternoon? Leero olweggulo mujja kusoma ki?](http://slidetodoc.com/presentation_image_h/1e748606b05c621e09dfe649dd520cd5/image-11.jpg)
What are you[. pl] going to read this afternoon? Leero olweggulo mujja kusoma ki?

This afternoon we shall read books on Math. Leero olweggulo tunaasoma ebitabo by’okubala. Leer_olweggulo tunaasom_ebitabo by’okubala.

What shall we eat at lunch? Tunaalya ki ku kyemisana?

We shall eat meat and rice. Tunaalya ennyama n’omuceere. Tunaaly_ennyama n’omuceere.

What shall we drink at lunch? Tunaanywa ki ku kyemisana?

We shall drink beer. Tunaanywa omwenge. Tunaanyw_omwenge.

I shall write a letter. I shall write it. Nnaawandiika ebbaluwa. Nnaawandiik_ebbaluwa. Nnaagiwandiika.

I shall put the money on the table. I shall put it on the table. Nnaateeka ensimbi ku mmeeza. Nnaateek_ensimbi ku mmeeza. Nnaaziteeka ku mmeeza.

This old car is still good. Mmotoka enkadde eno ekyali nnungi. Mmotok_enkadd_eno ekyali nnungi.

This rice is bad. Omuceere guno mubi.

The black cat is clever. Kkapa enzirugavu egazi. Kkap_enzi_ugavu egazi.

These bananas are unripe. Amenvu gano mabisi.

This egg is not good, it’s hard. Eggi lino si ddungi, gumu.

Those men are tall. Abasajja bali bawanvu.

Luganda is not easy. Oluganda si lwangu.

The small white boat is new. Akaato akeeru kaggya. Akaat_akeeru kaggya

That song is foreign. Oluyimba luli lugwiira. Oluyimba luli lugwii_a.

These large cows are good. Ente zino ennene ennungi.

The small puppy is sick. Akabwa akato kalwadde.

This coffee is delicious. Kaawa ono awooma. Kaaw_ono awooma.

Madame, who are you? Maama ggw'ani?

May I call on the lady? Kwe kugamba, omukyala mmuyite?

Oh no, don't call her, leave her to carry on with her work. Aaa, tomuyita, leka kumuggya ku mirimu gye.
![Ok, I shall see her next time [another day]. Mmm. Nnaamulaba olulala. Mmm. Nnaamulab_olulala. Ok, I shall see her next time [another day]. Mmm. Nnaamulaba olulala. Mmm. Nnaamulab_olulala.](http://slidetodoc.com/presentation_image_h/1e748606b05c621e09dfe649dd520cd5/image-34.jpg)
Ok, I shall see her next time [another day]. Mmm. Nnaamulaba olulala. Mmm. Nnaamulab_olulala.

What shall I tell her, Madame? Nnaamugamba ntya nnyabo?

Tell her that Nnakalema sent regards. Mugambe nti Nnakalema yakutumidde.

Call the students. Don’t call the students. Leave off calling the students. Yita abayizi. Toyita bayizi. Leka kuyita bayizi.

Call the students. Don’t call them. Leave off calling them. Abayizi bayite. Tobayita. Leka kubayita.

Let him/her call the lady. Let him/her call the others. Omukyala amuyite. Abalala abayite.

Wipe the board. Don’t wipe the board. Leave off wiping the board. Sangula olubaawo. Sangul_olubaawo. Tosangula lubaawo. Leka kusangula lubaawo.

Enter class. Don’t enter class. Leave off entering class. Yingira mu kibiina. Toyingira mu kibiina. Leka kuyingira mu kibiina.

Sit on a chair. Don’t sit on a chair. Leave off sitting on a chair. Tuula ku ntebe. Totuula ku ntebe. Leka kutuula ku ntebe.

Close the door. Don’t close the door. Leave off closing the door. Ggalawo oluggi. Toggalawo luggi. Leka kuggalawo luggi.

Open the door. Don’t open the door. Leave off opening the door. Ggulawo oluggi. Toggulawo luggi. Leka kuggulawo luggi.

He/she works badly. Akola bubi.

They(things) look good. Girabika girungi. Girabika gi_ungi.

How is it going? Gitambula gitya?

How do I look? Ndabika ntya?

He/she went/left early. Agenze mangu.

We are running slowly. Tudduka mpola.

How do we say. . . ? Tugamba tutya. . . ?

How are they bathing? Banaaba batya?

Each one has a mango. Buli omu alina omuyembe gumu.

Everyone needs happiness. Buli muntu yeetaaga essanyu.
![When I go to Kampala you[. pl] will not see me again. Bwe ndigenda When I go to Kampala you[. pl] will not see me again. Bwe ndigenda](http://slidetodoc.com/presentation_image_h/1e748606b05c621e09dfe649dd520cd5/image-55.jpg)
When I go to Kampala you[. pl] will not see me again. Bwe ndigenda e Kampala temuliddayo kundaba. Bwe ndigend_e Kampala temuliddayo kundaba.

We jumped when he/she blew the final whistle. Twabuuse bwe yafuuye effirimbi ey’akasiibulo. Twabuuse bwe yafuuy_effi_imbi ey’akasiibulo.

When the man returned home, he called his doctor. Omusajja bwe yadda eka, yayita omusawo we. Omusajja bwe yadd_eka, yayit_omusawo we.

When they go to work they don’t finish until evening. Bwe bagenda okukola akawungeezi y’alamula.

When we finish eating, we leave. Bwe tumala okulya ne tuta. Bwe tumal_okulya ne tuta.

When we make a mistake we do not seek to hide it or avoid it. Bwe tukola ensobi tetunoonya ngeri ya kugikwekamu oba okugyewalamu.

I did the task as he instructed me. Nnakola omulimu nga bwe yandagirira. Nnakol_omulimu nga bwe yandagirira.

As soon as possible. Amangu nga bwe kisoboka.

You think that the book is important, but this is not the case. Olowooza nti kitabo kikulu, so nga si bwe kiri.
![I’m going tell you[. pl] everything just how it happened. Nzija kubalombojjera buli kimu I’m going tell you[. pl] everything just how it happened. Nzija kubalombojjera buli kimu](http://slidetodoc.com/presentation_image_h/1e748606b05c621e09dfe649dd520cd5/image-64.jpg)
I’m going tell you[. pl] everything just how it happened. Nzija kubalombojjera buli kimu nga bwe kyajja.

As the people become many, the government thinks about building a hospital. Abantu nga bwe bagenda beeyongera obungi, gavumenti eroowoza okuzimba eddwaliro. Abantu nga bwe bagenda beeyonger_obungi, gavumenti eroowoz_okuzimb_eddwaliro.

Alisi is smarter than Yohanna. Alisi mugezi okusinga Yohanna.

Robert drives better then me. Roberti ansinga okuvuga.

Where is your younger sibling? Muto wo ali ludda wa?

I am losing everything. Nfiirwa buli kimu.

It’s raining everywhere. Etonnya buli wamu.

He/she walks alone. Atambula yekka.

There’s no money. Tewali ssente.

There’s nobody. Tewali bantu.

I am alone! Ndi nzekka!

Do we work alone? Tukola fekka?
- Slides: 75